Bya Gerald Mulindwa
Ntenjeru – Bugerere
Minisita Mariam Mayanja akuutidde abakyala b’e Bugerere okulima emmwanyi begobeko obwavu.

Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja okwogera bino asinzidde mu Ssaza Bugerere bw’abadde alambula abakyala b’e Bugerere n’okutongoza akaalo amatendo ssaako n’okwetaba ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Abakyala b’e Bugerere ku mbuga y’essaza e Ntenjeru.
Hajjat Mariam agamba nti emmwanyi kirime kya ttunzi ekisobolera ddala okuwanirira embeera y’Amaka singa abantu bajjumbira okukirima ate naddala abakyala, bw’atyo n’abasaba bajjumbire okukirima basobole okwekulaakulanya bagobe obwavu.
Agenze mu maaso n’akubiriza abantu ba Kabaka okukola bulungibwansi okusobola okutumbula obuyonjo mu bitundu byabwe era nga tebeerabidde kukuuma butondebwensi nga bayiga okukola amasannyalaze agava mu kasasiro okwewala okutema emiti.
Ye Omwami w’essaza Bugerere, Oweek Ssemugooma Samuel, asabye ab’e Bugerere okussa mu nkola e miramwa egireetebwa obwakabaka kibayambe okukyuusa embeera z’obulamu bwabwe.
Oluvannyuma Minisita Mariam atongozza olukiiko lwa bulungibwansi mu ssaza lino nga lukulemberwa Ssebunnya Musa Mulamba.
