Abayimbi mu kuzza Buganda ku Ntikko

Amawulire Aug 29, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Katikkiro Charles Peter Mayiga akowoodde Bannabitone okwetaba mu kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.

Bannabitone ab’enjawulo okusingira ddala abayimbi balabiddwa nnyo ensangi zino nga bakiika Embuga naddala nga beetegekera ebivvulu bye babeera bategese, abalala beetaba mu mikolo gy’Obwakabaka nga oluwalo, egy’amazaalibwa ga Kabaka, egy’Amatikkira n’emirala.

Ssabbiiti eno yokka abayimbi basatu (3) be bakiise Embuga okuli Cinderella Ssanyu amanyiddwa ennyo nga Cindy, Maureen Nantume ne Shafik Walukagga eyakazibwako erya Fik Fameica ate nga bawerekerwako ne bannabwe abalala. Bano bonna Katikkiro Mayiga abawadde obudde n’abasisinkana.

Katikkiro mu kwogera kwe eri Bannabitone agamba nti Obwakabaka bubaanirizza kubanga bwagala benyigire butereevu mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko amanyiddwa obutereevu nti aluubirira kukyusa mbeera z’abantu zituuke ku mutindo ogweyagaza.

“Kabaka bweyawa abavubuka omulembe gwe, yayagala bakulemberemu okusitula ekifaananyi kya Buganda, twagala Bannabitone beetabe butereevu mu kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko nga beetaba mu mirimu gy’Ebika byabwe n’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga alaga nti singa Bannabitone beetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka ettutumu lyazo lyeyongera era eky’okulabirako ky’awa nti singa abazukkulu mu Kika kya Kasimba bamanya nti bagenda kulamaga ku butaka ne bawulira ne Shafik Walukagga oba Mathias Walukagga gye bali kyongera omuggundu mu nteekateeka. Obwakabaka kwe kusimba amaanyi mu kukubiriza Bannabitone okwetaba mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.

Katikkiro Mayiga era ategeeza nti Obwakabaka bulina enteekateeka okulaba nti emirimu gya Bannabitone gikolebwa mu ngeri ey’ekikugu era n’asaba bonna abali mu kisaawe ky’okuyimba, okuzannya katemba, okukuba ebivuga n’emirimu emirala egigwa mu bitone okufaayo okunnyikiza emirimu gyabwe okusobola okugifunamu obulungi.

Katikkiro era akyogera entankera nti okuyimba oba okuzannya katemba mulimu nga okulima emmwanyi, okusomesa oba okukola amateeka ng’eno y’emu ku nsonga lwaki agenda ne mu bivvulu okuwagira abayimbi nga bwakikola ng’alambula abalimi b’emmwanyi, amasomero oba kkampuni ez’enjawulo.

“Ekivvulu ky’omuyimbi omu bwati kiwa abantu bangi emirimu omuli; abakuba ebivuga, abategesi, abazinnyi, bannamawulire n’abalala ekitegeeza nti ebitone bireetawo emirimu mingi nga kwotadde n’okuwa emisolo eri Gavumenti” Owek. Mayiga.

Katikkiro era akubiriza Bannabitone obutapapaira ttuttumu oba bugagga wabula bakole emirimu gyabwe ku mutindo ogusaanidde, bagumiikirize olwo basobole okufuna mu bye bakola ekiseera ekiwera, awa eky’okulabirako ku bayimbi abaludde mu kisaawe abazzeemu okukola ebivvulu ate abantu ne babawagira nnyo okugeza nga Ssebatta, Africa band, Halimah Namakula n’abalala. Akubiriza abayimbi abato okubalabirako bakole eby’omutindo babiganyulwemu ebbanga lyonna.

Obwakabaka bwa Buganda bulina Minisitule evunaanyizibwa ku bitone era Minisita Robert Serwanga agikulembera mu kiseera kino, agamba nti Obwakabaka emiryango gyabwo miggule eri buli munnabitone okulaba nti beegazanyiza mu buwangwa bwabwe, baganyulwa mu bungi bw’abantu ba Buganda ate nga bwe batumbula olulimi oluganda nga bayita mu nnyimba n’obubaka bwe bawa abantu.

Minisita Serwanga kyokka era akubiriza Bannabitone okukola n’emirimu emirala obutakoma ku kuyimba kwokka kw’agamba nti kutwala ensimbi nnyingi okugeza mu kwambala, okukwata entambi z’ennyimba n’ebirala. Ono bwatyo akalaatira Bannabitone okulima emmwanyi, okusuubula n’emirimu emirala era asuubizza nti Obwakabaka bwetegefu okuwagira Bannabitone baganyulwe mw’ebyo bye bakola.

Bannabitone ab’enjawulo batandise okwenyigira mu buweereza bw’Obwakabaka okugeza Omumbejja Mariam Ndagire ye Mwami w’eggombolola Mut.II Nabweru mu Kyaddondo, Andrew Benon Kibuuka ye Mwami wa Kabaka ow’Eggombolola Ssaabawaali Kasanje mu Busiro n’abalala.

LANGUAGE