
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Abaami ba Ssaabasajja Kabaka Abamasaza, nga bakulembeddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwabwe Kangawo Owek. Ronald Mulondo, basisnkanye Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ku Mbuga ya Bulange okukubaganya ebirowoozo ku alipoota eyafulumizibwa ku byava mu kwekenneenya enzirukanya y’emirimu mu masaza 2024 – 2025.
Oweek. Waggwa abalungamiza ku ngeri gye bayinza okuyingiza ensimbi awamu n’okuzisaka mu masaza gaabwe nga bayita mu kutembeeta ensonga enkulu eziri mu bitundu byabwe. Omuwanika agamba nti Obwakabaka bwagala okulaba amasaza nga gavaayo ne pulojekiti ezikwata ku kutumbuula embeera z’abantu nga gakwataganye wamu n’ekitongole ky’Obwakabaka ekya BICUL basobole okusaka ssente okuva mu bantu ab’enjawulo okwetoloola ensi yonna.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki agamba nti abaami bakola bulungi nnyo mu nnyingo y’okukuuma, okutaasa n’okunyweza nnamulondo, ensonga y’amakakkalabizo n’enkiiko omulundi guno wabula abasabye okwongeramu amaanyi mu nnyingo ezimu ze bayiseemu nga tezakolebwa bulungi buli saza.
Ku lw’abaami bamasaza, Kangawo Oweek. Mulondo atenderezza enteekateeka eno etegekeddwa Obwakabaka kubanga ebayambye okumanya we batuuse nga abaami, we basaniidde okukyusaamu n’okwongeramu mu ntambuza y’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka.
Mu Gatonnya w’omwaka gwa 2014, Ssaabasajja Kabaka yasiima wabeewo okwekeneenya enkola y’emirimu mu masaza bweyali alambula essaza ly’e Bugerere. Ekirabo ekigabibwa eri essaza erisinze amalala mu nkola y’emirimu lye litegeka olunaku lwa Gavumenti ez’Ebitundu ne Bulungibwansi mu Buganda nga omwaka guno zigenda kubeera Kyaddondo.