
Minisita w’Ebyokwerinda mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Anthony Wamala asisinkanye abasirikale b’eggye erikuuma Kabaka, Obwakabaka n’Ebifo bya Buganda ebyenjawulo mu lukiiko olutudde e Mmengo mu Lubiri.
Minisita Wamala akubirizza abaserikale ab’eggye erikuuma Kabaka eryakazibwako Kabaka Protection Unit (KPU) okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka zonna okusobola n’okunyweza eby’okwerinda mu Bwakabaka.
Oweek. Wamala, akiggumizza nti obuvunaanyizibwa bw’abaserikale bano obukulu kwe kunyweza ebyokwerinda bya Ssaabasajja Kabaka n’Obwakabaka bwonna okutwalira awamu, ekintu kye basobola okutuukiriza nga bagoberedde bulungi enteekateeka z’Obwakabaka zonna.Bano abeebazizza emirimu gye bakola, n’abasuubizza obuwagizi bwonna okulaba nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Eggye erikuuma mu Bwakabaka oba liyite Kabaka Protection Unit livunanyizibwa ku kukuuma Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka wonna wabeera, okukuuma Embiri ze, Abaana b’Engoma nga Kabaka bw’aba alungamizza, Nnaabagereka, Katikkiro, Embuga ya Bulange e Mengo n’Ebifo ebirala eby’enkizo nga Amasiro, ewakuumirwa Engoma mujaguzo, n’ebirala. Eggye luno era liteeks obukuumi wonna awategekebwa emikolo gy’Obwakabaka kasita gibaako abantu ab’Enkizo mu Bwakabaka.