Obulimi Bugobera Ddala Obwavu – Katikkiro

Amawulire Aug 28, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Buganda okunyikirira eby’obulimi basobole okwegobako obwavu.

Obubaka bwa Katikkiro abutisse Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba bw’abadde atikkula oluwalo olusobye mu bukadde 17 okuva mu Masaza Buweekula ne Kyaddondo ku Mbuga ya Bulange e Mmengo.

Kamalabyonna agamba nti obwavu mpologoma era abantu baasanidde okukola buli kimu ekisoboka okutambuza omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw’okulima emmwanyi era bettanire n’ebibiina by’obwegassi bibakumeekume kubanga agali babeere bumu bagobe obwavu, akikaatiriza nti agali awamu ge galuma ennyama.

Katikkiro era mu bubaka bwe asabye abazadde okukuumira abaana mu masomero nga kino kyeky’bugagga kyebasobola okubawa okusobola okwewala omugigi omugayavu mu biseera eby’omumaaso. Wano era avumiridde obucaafu obusukkiridde mu bibuga ensangi zino najjukiza abantu omwoyo gwa bulungibwansi eyakolebwanga edda mu nguudo, enzizi, era n’abasaba okwerwanako baleme kulinda gavumenti kubayamba.

Minisita Noah Kiyimba akiikiridde Katikkiro Mayiga mu kutikkula oluwalo

Ku lwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke nga ye Minisita w’Amawulire, ategeezezza nti oluwalo ly’ekkubo eriyitibwamu Obwakabaka okutuusa obubaka obw’enkulaakulana eri abantu ba Kabaka omuli okubakubiriza okusomesa abaana, okujjumbira enteekateeka y’okulima n’ebirala, bwatyo yebazizza abantu abakiika embuga entakera n’abasaba bongere n’okukunga abantu abalala okujjumbira.

Omwami wa Kabaka ow’essaza Buweekula, Luweekula Owek. Ssempijja Andrew Mukasa yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa essaza lyabwe amazzi, kalakita, ssemaduuka w’ebirime ku bbeeyi ensaamusaamu, agambye nti bino byongedde okwanguya entambuza y’emirimu mu ssaza era n’embeera z’abantu zongera okukyuka.

Ggombolola ezikiise Embuga zivudde; Buweekula; Ssaabaddu Butoloogo, Ssaabawaali Madudu, Musaale Kiyuuni ate Ssaabagabo Kasambya ne Ssaabagabo Lufuka okuva e Kyaddondo.

LANGUAGE