Ab’e Ssingo babanguddwa ku nkola ya E-Luwalo

Amawulire Jun 01, 2026
Share This

Bya Musasi waffe

Mukwenda abangudde ab’e Bukuya ku nkozesa ya E-Luwalo okubanguyiza mu kuwayo Oluwalo.

Omwami w’essaza Ssingo, Mukwenda Oweek Deogratious Kagimu, asinzidde mu ggombolola Mutuba 1 Bukuya gy’ali mu kulambula abantu ba Kabaka n’okubatuusaako enteekateeka eziva embuga, n’alaga abeeno engeri gyebasobola okuwayo oluwalo nga bakozesa essimu zaabwe era nebafuna ne alisiita mu bwangu ddala.

Oluvannyuma atongozza olukiiko olunaakola ku luwalo mu ggombolola Mutuba 1 Bukuya olukulemberwa Ssempewo John, n’asaba olukiiko luno okutuuka ku buli muntu wa Ssaabasajja Kabaka awagire Oluwalo kisobozese emirimu gy’Embuga okutambula obulungi. Wano ensimbi ezikunukkiriza obukadde bubiri zisondeddwa nga entandikwa y’okukungaanya oluwalo.

Muteregga Muwonge Jackson, omwami atwala ggombolola Mutuba 1 Bukuya, yeebazizza Mukwenda okulambula abantu be Bukuya n’akakasa nti ku mulundi guno ggombolola eno eyongeddemu amaanyi mu kunoonya oluwalo.

Oweekitiibwa Kagimu, era asabye banna Ssingo okwekwata enkola esitula omutindo mu bye bakola nti lino kkubo ddungi erinaabatuusa ku nkulaakulana eya nnamaddala. Okulambula kuno Mukwenda akukozesezza okunnyikiza kaweefube w’okunyweza omutindo mu by’obulamu, eby’enjigiriza, eri abantu ba Kabaka era bettanire eddwaliro Muteesa II e Busimbi, amasomero ga nassale ag’obwakabaka e Kassanda, Bukomero ne Ntwetwe.

Mukwenda awerekeddwako; abamyuka be Mwami Moses Tusuubira Nnyombi omumyuka asooka, Mwami Jumba Stephen, omumyuka owokusatu n’abakiise ku lukiiko lw’Essaza.

LANGUAGE