Bya Gerald Mulindwa
Mmengo- Kyaddondo
Ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda aggaddwawo Katikkiro Charles Peter Mayiga n’obubaka eri abakyala okunyiikira okukola, okuyambagana, okukozesa tekinologiya mu mirimu, okwetaba mu nteekateeka ez’enkulaakulana n’okusoosowaza omutindo ogusinga obulungi.

Katikkiro agamba nti abakyala bassaayo omwoyo ku buli nsonga era bafaayo okwekebeza endwadde, obuyonjo, okulabirira abaana n’Abaami, Ate era bafaayo nnyo ku butonde kubanga bbo bakimanyi nti okukuuma obutondebwensi kuba kukuuma bulamu bwaffe.Akubirizza abasajja okuwagira abakyala mu mirimu gy’abwe kubanga omukyala bwakulaakulana mu by’enfuna, n’omusajja akulaakulana.
Mu ngeri y’emu akubirizza abakyala okukola ennyo awatali kwekubagiza, bakozese tekinologiya okubanguyiza emirimo, era bettanire enteekateeka z’okwekulaakulanya omuli ebibiina by’obwegassi.
Oweek Namutebi Susan bw’abadde ayanjulira Kamalabyonna ebisomeseddwa mu ttabamiruka, agambye nti ttabamiruka ono lyafuuka ssomero abakyala mwe bafunira amagezi agabayisa mu kusomoozebwa okutali kumu.

Guno mulundi gwa kkumi nga Ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda ategekebwa. Yetabiddwamu abakyala okuva mu Masaza ga Buganda n’ebweru wa Buganda, ebibiina by’Abakyala okuli Women’s guild, Mother’s Union, Seventh-day Adventist Women’s Union, n’abantu ssekinnoomu.