Alan Kasujja, Ssenkulu wa Uganda Media Centre akiise Embuga

Amawulire May 06, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange-Kyaddondo

Ssenkulu wa Uganda Media Centre omuggya era munnamawulire omukuukutivu, Allan Kasujja akiise embuga okweyanjula mu butongole wamu n’okunyweza enkolagana y’ekitongole ky’akulira ki Uganda Media Centre n’Obwakabaka bwa Buganda.

Alan Kasujja asinzidde mu nsisinkano eno ne Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange e Mmengo, n’annyonyola nti mu buweereza bwe nga Ssenkulu wa Uganda Media Center alina ekiruubirirwa ky’okukolagana n’Obwakabaka okutambuza enjiri y’ebyenkulakulana mu bantu ba Uganda nga bakola okussa ensimbi mu nsawo zaabwe, ate nga Buganda eddimu lino yalibakanako dda okuyita mu pulogulaamu zaayo nga eya mmwanyi terimba kale nga okukolagana n’Obwakabaka akisuubiramu ebibala bingi.

Alan era ategeezeza ayongeddeko nti bayaayanira okukola n’ekitongole ky’Obwakabaka eky’amawulire ki Buganda Media Centrr okusaasanya amawulire amatuufu mu ggwanga n’okutumbula enkulaakulana.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ayanirizza ebirowoozo bya Kasujja, era n’amusaba mu byonna by’ateekateeka okukola okuteeka ennyo amaanyi mu kulafuubanira ekifaananyi kya Uganda mu mawanga g’ebweru okussuka kw’ekyo kye bagirabiramu mu kiseera kino.

“Uganda tetwagala bantu bagimanyeko kaawa yekka oba okukoma ku kwogera ku enjuba nga bw’evaayo buli lunaku, twetaaga n’abantu ababeera mu mirimu egyenjawulo ku ddaala ly’ensi yonna kuba ky’ekimu ku bintu ebitunda amawanga era nkakasa nti ebbanga ly’omaze ku BBC abantu bangi bebuuza Kasujja oyo bamuzaalawa era awo Uganda obadde ogiteeka ku mmaapu, nenyumiririza nnyo mu baannayuganda abakola emirimu egiwulikika kale kikulu tubatumbule Ensi ebategeere” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna alaze obukulu bw’obukugu obwetaagibwa mu mulimu gw’amawulire ky’alaze nti kisaanidde abo abaguwangaaliramu okubwolesa obutattana kitiibwa kyagwo mu lujjudde. Katikkiro alaze okwenyammira olw’abantu abalowooza nti okuba n’essimu ya sseereza kibawa ebbeetu okuyingirira omulimu gw’amawulire olw’okwagala okufuna abagoberezi ku mitimbagano, asabye Kasujja n’ekitongole kye okulwanirira ekitiibwa ky’omulimu gw’amawulire.

Katikkiro Mayiga ategeezezza nti alina essuubi mu Mw. Kasujja olw’obukugu bw’alina mu kisaawe ky’amawulire ky’anyonyodde nti kyakwongera okubunyisa emirimu gya gavumenti mu bantu nga bakwataganye bulungi n’Obwakabaka kyokka mu ngeri eyenjawulo amusabye okubudaabuda bannansi okumanya nti Uganda ebamala era bagyamu bulungi, basaana okukomya okukuubagana.

“Amawulire ky’ekidduka n’amafuta mu mirimu gyaffe, tukola ebintu bingi wano mu Bwakabaka naye awatali ba mawulire abantu tebayinza kubitegeera, kubanga ffe tetuyinza kutambula kutuuka ku buli muntu naye amawulire gatuusa obubaka bwaffe, abantu ne bakola bye tubakubiriza nga bwekiri mu kulima emmwanyi” Katikkiro Mayiga.

Minisita w’Amawulire era omwogezi w’Obwakabaka Israel Kazibwe Kitooke ategeezezza abakulu okuva mu Uganda Media Center nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana nabo naddala ku luuyi lw’emitimbagano egimanyidwa ennyo kati mu kutambuza amawulire mu bantu.

Mu nsisinkano eno, ku ludda lw’Obwakabaka yetabiddwamu Owek. Noah Kiyimba, Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Robert Serwanga, Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Alan awerekeddwako abakozi ab’enjawulo mu Uganda Media Centre.

LANGUAGE