Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Abakulembeze b’abayizi okuva ku Islamic University In Uganda abakiise Embuga okusisinkana Katikkiro abaluŋŋamye ku ntambuza y’obukulembeze n’obulamu obwa bulijjo era ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo.
Mu kwogerako gye bali Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abayizi bano okunyiikira okwogera amazima amaleere baleke kupalapalanya naddala nga bayingidde ensi y’okukola.

“Bwoba oyogera amazima tewali kikugaana kwogera kintu nga bwekiri kubanga okupalapalanya ssi kulungi, naye bw’oyogera ekintu ekituufu lwaki oba oyita eno, n’oyita eri ng’ate ky’oyogerako kituufu n’olwekyo bwoba onoyogera ebintu ebirambulukufu birina kuba bya mazima” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna asabye abayizi bano okuba okweteekateeka mu buli mulimu gwe bakola naddala mu mbeera zaabwe ng’abayizi nga bakulembeza ennyingo z’enkola ey’omulembe omuggya omuli obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, okukola emirimu n’okwagala byalaze nti byakubanguyiza obulamu.

Katikkiro bano abasuniddeko ku bisobola okubayitimusa mu myaka gyabwe egy’ekivubuka okuli okumanya eddaala kwe bali nti bayizi bakole ekyo kye basaanidde okukola ate babeere n’ebiruubirirwa bye bagoba, annyonnyodde nti omuvubuka buli lw’abeera nga talina kiruubirirwa mu by’akola, n’okuwangula tawangula.
Oweek. Mayiga taleseeyo kwebaza bannankobazambogo ba IUIU olw’okukuuma n’okutaasa obuwangwa bwabwe ne nnono ng’agamba nti bwe buyigirize obusooka okuleka okugattirwa ebibasomesebwa mu kibiina, abayigirize abatamanyi buvo bwabwe abageraageranyiza ku ky’enyanja ekitamanyi kuwuga.
Galiwango Ashiraf, omusomesa akulembeddemu abayizi asiimye Katikkiro emirimu gy’enkizo gy’akoze mu bantu ba Kabaka n’obudde bw’awaayo okuteekateeka abavubuka ng’abaluŋŋamya buli kiseera.
Omukulembeze w’abayizi ku IUIU ettabi ly’e Kampala Musanje Kateregga Ibrahim yebazizza Kamalabyonna olw’obukulembeze bw’e kati emyaka 13 nga abasikiriza nga abavubuka nabo okweyongerayo nga abakulembeze ab’omuziinzi.
Mu bayizi ba IUIU abaamaliriza emisomo gyabwe mwe muli n’abekolamu ekibiina ekirima emmwanyi mu Buddu ekiyitibwa MTB Coffee works abategezeza nti omulimu gw’okulima emmwanyi bagusimbuliza ku biragiro ebiva embuga ku kaweefube wa mmwanyi terimba, bano Katikkiro abasanyikidde nnyo era asuubizza okubasisinkana okwongera okuwuliriza ebirowoozo byabwe n’okubawabula ku mulimu gwe bakola.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ne Minisita w’Amawulire, n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka beetabye mu nsisinkano eno.