Omuyimbi Spice okuva e Jamaica ali Uganda: Akyaddeko Embuga

Amawulire May 07, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Omuyimbi Grace Latoya Hamilton amanyiddwa nga Spice okuva e Jamaica akyaddeko embuga mu n’asisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Baminisita okubadde; Israel Kazibwe Kitooke ne Robert Sserwanga Ssaalongo ne Noah Kiyimba.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde ayaniriza omuyimbi Spice mu Buganda anyonyodde nti okulambula kw’omuyimbi ono mu Uganda ne Buganda kyongera okutumbula ebyobulambuzi ebiri mu ggwanga.

“Abantu tebagenda gye batamanyi, abantu ebifo bye bakyalira biba ebyo bye bategedde, kaakati omuyimbi ng’ono Spice ow’erinnya bwajja wano ensi yonna ejja kumanya nti ali mu Uganda era bw’ava wano agenda mu masiro e Kasubi gye tumanyi nti yentabiro yaffe ey’obugunjufu, kino kisobozeza abantu mu nsi yonna okumanya nti mu Uganda temuli bisolo byokka wabula ebintu eby’obulambuzi bingi ddala” Katikkiro Mayiga bw’anyonyodde.

Oweek. Mayiga anyonnyodde emiganyulo egiri mu bulambuzi omuli okutondawo emirimu, okufuna ensimbi n’okwewummuzaako, asabye bannayuganda okutwala eby’obulambuzi nga nsonga nkulu, ate nga mu kusooka balambule ebifo ebiri mu nsi yaabwe bagimanye olwo basobole okugyenyumirizaamu.

Ye omuyimbi Spice anyonnyodde by’alabye okuva lwe yatuuka mu Uganda ng’agamba nti bino bigenda kufuuka kijjukizo Kya maanyi mu bulamu bwe; okuva ku mmere gy’alidde okutuuuka ku bifo eby’obulambuzi byatuuseemu.

Ono anyonnyodde nti okubeerako mu Bwakabaka bwa Buganda buwanguzi ku bulamu bwe naddala nga yesigama ku ŋŋombo gye yagunjizaawo eya ‘From Homeless to Greatness’. Ategeezezza nga yesigama ku ŋŋombo eno aluubirira okuzzaamu essuubi mu baddugavu naddala mu Africa baleme kwenyooma, wabula bekkiririzeemu nti baliko eby’amaanyi bye basobola okutuukako newankubadde obulamu bulimu ebisoomooza.

Juliana Kagwa, Ssenkulu wa Uganda Tourism Board, ekitongole ekivunanyizibwa ku byobulambuzi mu Uganda, alaze nti waliwo ebyafaayo ebiwandiikibwa mu kisaawe ky’ebyobulambuzi mu Uganda ne Buganda olw’omuyimbi Spice okukkiriza okukolagana nabo nga alambula ebifo by’obulambuzi mu ggwanga omuli n’amasiro g’e Kasubi nga abitimba ku mitimbagano gye egirina abagoberezi okwetooloola ensi yonna. Ono agamba nti bagenda kufuba okulaba nti buli myumbi ow’amaanyi okuva ebweru w’eggwanga addamu okuyingira mu Uganda, bamulambuza ebifo eby’enjawulo byongere okumanyika eri Ensi.

Minisita w’Abavubuka n’ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Serwanga Ssaalongo ategeezeza nti omuyimbi nga Spice okujja mu Uganda, kyongera okumanyisa Ensi nti Uganda erimu ebirungi bingi naddala bw’eba esobola okukyaza abantu abamanyifu nga Spice bw’ali kyoleka nti erina eby’enkizo n’abalala bye basaana okuyaayaana okulabako n’okutegeera.

Omuyimbi Spice wakubeera n’ekivvulu ekyategekeddwa e Lugglogo mu Cricket Oval ku Lwomukaaga nga 09/05/2026

LANGUAGE