Bboodi Empya Eya Muteesa I Royal University Eyanjuddwa

Amawulire Aug 15, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kakeeka – Kyaddondo

Ssettendekero ya Muteesa I Royal University efunye olukiiko oluggya oluddukanya emirimu era lutongozeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro.

Luno lwe lukiiko olw’omusanvu nga lukulemberwa omusirikale wa Paapa era munnabyanjigiriza Dr. Kasozi Mulindwa.

Bw’abadde atongoza olukiiko luno, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okutandikawo settendekero eno wamu n’amatendekero g’ebyenjigiriza okuva ddaala lya erisookerwako okutuukira ddala ku ssettendekero. Agamba nti ebyenjigiriza bitumbuddwa nnyo, abantu ba Buganda ne basobola okufuna obuyigirize obusaanidde.

Prof. Kaawaase era alaze ebintu abantu ba Kabaka bye bettanira omuli; ebyobulamu, ebyenjigiriza, okunyweza obumu awatali kusosola mu bantu n’ebyo bye bakkiririzaamu. Wabula bino byonna byetaaga ensimbi ezisobola okubiyimirizaawo, bw’atyo asabye olukiiko olulondeddwa okufuba okunonya ensimbi okusobola okuwanirira eggwanika lya Buganda.

Ono era akuutidde ab’olukiiko okufuba okutegeera Ssaabasajja Kabaka, ekifaananyi ky’Obwakabaka Ensi mw’ebulabira, okutegeera Buganda by’eyagala, okumanya ssemasonga ettaano, n’okukuuma ebyaffe.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, asabye olukiiko olukulemberwa Dr. Kasozi Mulindwa okufuba okulaba nga ssettendekero wa Muteesa afulumya abayizi ab’embala era abafunye obukugu obumala okuweesa Obwakabaka ekitiibwa.

Bw’abadde akuba ebirayiro by’okukkiriza obukulu obumuweereddwa, Dr. Kasozi Mulindwa, yeyanzizza Maasomoogi olw’obwesige bw’amutaddemu ne yeyama obutamutiiririra, era agamba nti obuweereza bwabwe ng’olukiilo bwa kwesigamizibwa ku nnamutayiika wa Ssettendekero ono owa 2025-2030. Era baakutunuulira nnyo okutumbula omutindo gw’ebisomesebwa nga bettanira omutimbagano okunoonyeza ssentendekero akatale okusobola okwongeza ku muwendo gw’abayizi.

Abalondeddwa ku olukiiko be bano; Ssentebe – Dr. Kasozi Mulindwa Satanilus, Omumyuka wa Ssentebe – Prof. Nalukenge Irene n’abalala okuli Dr. Nawoova Sarah Deborah, Prof Achileo Kaaya, Eng. Ssekatawa Edward, DR. Ramathan Kibirige, Prof Edward Bbaale, Mawejje William, Prof. Maria Musoke, Dr. Nakimuli Leticia, Hon. Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene, Hon. Namayanja Florence, Prof Damalie Nagitta Musoke, Mw. Abdul Kyanika, Mw. Kazibwe Deogratious, Mw. Birende Jamir, Mw. Edward Bitta Lwanga

18. Nampijja Jackline

LANGUAGE