Tuvumirira Abavvoola Eddiini – Katikkiro Mayiga

Amawulire Aug 16, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Bisanje, Masaka – Buddu

Katikkiro Charles Peter Mayiga yetabye mu dduwa y’eyaliko omukulembeze w’Abasiraamu mu Masaka, Sheikh Swaibu Ndugga e Bisanje Masaka mu Buddu.

Owek. Mayiga asinzidde wano n’alaga obwenyamivu olw’abantu abatandise okuvvoola eddiini z’abantu abalala nga basukulumya ezaabwe, bano abasabye okujjukira nti Omutonzi w’e Ggulu n’Ensi ali omu era ye Katonda omu eyatonda abantu bonna.

“Waliwo abantu aboogerera eddiini z’abalala, osanga obutuuti mbu abalokole battunka n’abasiraamu ne webuuza oba Ensi ekyalimu abakulembeze, bino byetaaga okuvumirira” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga asabye abantu okwemanyiza okukolagana, okwessaamu ekitiibwa nga bajjukira nti bonna basinza Katonda omu, wabula abaasomesa Katonda be baasomesa mu ngeri ez’enjawulo. Ayongeddeko nti buli muntu akitwale nti eddiini ye y’emutuusa eri Katonda kyokka wabeewo okuteeka ekitiibwa ne mu ndowooza z’abalala.

Katikkiro obubaka bwe abwesigamizza ku Sheikh Ndugga gw’agambye nti yali mugatta ng’assa ekitiibwa mu nzikiriza z’abantu bonna era ng’abasembeza. Ategeezeza nti Sheikh Ndugga yali omu ku bantu abaategeka omukolo gw’okwebaza Katonda e Masaka bwe yali alondeddwa ku bwa Katikkiro newankubadde enteekateeka zonna zaali za kkeleziya. Asabye abantu bonna okujja ekyokuyiga ku nkola ya Sheikh Ndugga.

Katikkiro wano era yebazizza abaana b’Omugenzi okukuuma omukululo gwa Kitaabwe era n’ajjukiza abantu bonna nti bwe bafiirwako abantu baabwe balina okufuba okukuuma ekitiibwa ky’amaka n’okubeera obumu era wano avumiridde abo abatunda eby’obusika olw’okwagala by’ayise eby’amangu.

Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Muhammad Galabuzi asinzidde wano n’akubiriza abantu okweyisa obulungi kubanga ebikolwa by’omuntu bisalawo nnyo ku baani abanaakolagana nabo, bwatyo asabye abasiraamu n’abantu mu ddiini zonna okweyisa obulungi okwewala enjawukana ez’engeri yonna.

Ye Bp. Serverus Jjumba omusumba w’e Masaka ate nga ye mukuza w’abaana ba Sheikh Ndugga akubirizza abantu okwagala ennyo obuwangwa bwabwe bw’agambye nti nsonga enkulu ezimbirwako omukwano n’obumu, ono ategeezeza nti ekyabagatta ye Sheikh Ndugga kwe kuba nti ono yali mukoddomi we kyokka omukwano gwanywera nnyo era ne bakola ebintu bingi nga bali wamu.

Bp. Jjumba era akalaatidde abantu okutegekanga okusabira abagenzi, okwabya ennyimbe n’emikolo emirala gy’agambye nti gireetawo omukisa gw’abooluganda okuddamu okusisinkana. Bwatyo yeebaziza abaana b’omugenzi olw’edduwa gye baategese okusabira omwoyo gwa kitaabwe ate nabo okwongera okutabagana ng’abooluganda ate n’emikwano.

Sheikh Hamidu Ssenoga, onomusika wa Sheikh Swaibu Ndugga ku lw’Abenju yebazizza abantu ab’enjawulo abababeerawo okubaluŋŋamya era agamba nti bano babayambye nnyo okukuuma ekifaananyi ekirungi eky’enju ya Sheikh Ndugga. Asuubiza nti baakwongera okufuba okukuuma omukululo gwa Kitaabwe nga bali bumu.

LANGUAGE