Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Bamusigansimbi aba Fakhruddin Properties okuva e Dubai mu United Arab Emirates bawaddeyo ‘dollar’ 1000 okuwagira omulimu gw’okisima enzizi z’amazzi amayonjo mu bitundu bya Buganda, okukola kino babadde basiima enkolagana ennungi Obwakabaka gye bwatandiseewo nabo ku lugendo Katikkiro lwe yabaddeko mu Buwalabu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonnyodde nti bamusigansimbi bamugaso nnyo eri Obwakabaka olw’emirimu egy’enjawulo gya bakola egisobola okuleeta enkulaakulana eri Obwakabaka ate ne bawagira n’enkuŋŋaana ezitegekebwa emitala wa mayanja.
“Bamusigansimbi bayamba mu by’enkulaakulana kati nga bwe batuwadde ensimbi okusima ezzizi ate ne tuwagira n’ebika baffe kale mu buli mbeera bamusigansimbi tubeetaaga” Katikkiro bwategezeza.
Katikkiro alaze nti obwavu kintu kya katyabaga nnyo mu bantu kale kisanidde abantu babeere mu mayumba amalungi, babere n’obulamu obulungi era agamba nti bano eby’amayumba bye bakolamu Obwakabaka bubyetaagira ddala okusobola okukyusa embeera z’abantu ne babeera mu bulamu obweyagaza kale omuntu bw’atabeera na nyumba nnungi tasobola kufaayo ku buwangwa bwe oba ekintu ekirala kyonna.
Owek. Mayiga alaze nti Buganda neteefuteefu okukolagana ne bamusigansimbi bano era asabye banayuganda okubawagira.

Haidry Quasai ne Shabbir Tayabali ku lwa Fakhruddin properties basiimye Katikkiro olw’okubakyalirira ko kitebe kyabwe lwe yakyala mu ggwanga lya UAE mu kibuga Dubai. Beyamye okwongera okuwagira Obwakabaka nga bakyali mu nsiike ye by’okuzimba amayumba era bawaddeyo dollar lukumi (1000 dollars) okwongera okuwagira okusaasaanya y’amazzi amayonjjo mu Buganda nga bajjuliza kaweefube eyatongozebwa omwaka oguwedde mu lukungana lwa BBNAC mu Kibuga Boston-America okusasaanya amazzi amayonjo mu Buganda.
Baminisita okuli Joseph Kawuki, Noah Kiyimba ne Israel Kazibwe Kitooke beetabye mu nsisikano eno.