Katikkiro Alabudde Ebitongole Ku Nkwata y’Abakozi

Amawulire Sep 23, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Katikkiro asibiridde abakulira ebitongole by’Obwakabaka entanda

Olukiiko olugatta Bassentebe wamu ne Bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka ebiwerera ddala 18 olusisinkana buli mwaka ne Katikkiro okubaako ebimulungulwa naddala ku nkola y’emirimu mu bitongole by’Obwakabaka byonna olutudde ku kitebe ky’ebyobulambuzi (BHTB) e Mmengo.

Ensonga enkulu Katikkiro Charles Peter Mayiga gy’asizaako omulaka y’eya Bassenkulu okwekenenya abakozi baabwe be bakozesa mu ntambuza y’emirimu gy’ebitongole kubanga be boonoona emirimu nga bakola ebitasaana, abawadde eddagala erivumula kino nti kwe kutendeka abo abakola emirimu gya wansi nga babagumikiriza mu nkola zaabwe ne babitegeera mpola mpola.

“Mu buli kitongole kyonna ensonga esinga obukulu be bakozi kyokka abakozi bwebaba baakiboggwe oba omukozi atasobola aba ayononera gwe ssentebe omulimu naye abantu bonna tebenkana wabula mwe musobola okutendeka abakozi abo enkola entuufu eyemirimu’ Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna bano abasabye okuwa abakozi olupimo kw’ebyo bye balina okukola, ng’annyonnyola nti omukozi atalina lupimo amala gakola mirimu olwo n’alemwa okutuukiriza ebyo byasubirwa okukola. Abakubirizza n’okwetegereza abakozi be balina oba bamugaso oba tebalina mugaso kuba oluusi baba tebalina mirimu gye bakola.

Owoomumbuga akalaatidde abakozesa okusembeza ennyo abakozi ababaako kyebagattako ku mirimu egigatta ekitongole kyokka abakuutidde okukangavula abakozi abalyake naye nga basoose kubawuliriza olwo ne balyoka babakangavula ne bakozi bannnaabwe bayigireko essomo.

Ku nsonga y’ennyingiza, Katikkiro alaze nti ebitongole byonna birina okwetengerera ate ne babeera bayiiya okufuna ebyo ebiyingiza ensimbi ne babeera bakodo ku nfulumya olwo beyagalirire mu bitongole nga bakozesa obuyiiya naddala eri abo be babanja nga babatusizaako empeereza z’ebitongole kubanga ne bizinensi endala zonna bwezitambula

Owek. Mayiga asiimye nnyo ba ssentebe ba zi bboodi z’ebitongole olw’okwewaayo ne bakola emirimu gya Ssabasajja mu bitongole ate ne baleka emirimu egyandisinze okubawa ensimbi. Wano w’abasabidde okukozesa obumanyirivu bwe balina okukulaakulanya emirimu egikolebwa mu bitongole ate bayambe ne Bassenkulu okutuukiriza emirimu gyabwe nga babawabula wano na wali mu mirimu egikolebwa.

Ku nsonga y’emisolo n’emitemwa egigerekebwa ab’obuyinza, Kamalabyonna abasabye nti mu nzirukanya y’emirimu Bassenkulu bateekedwa okugoberera ensasula y’emisolo baleme kusumbuyizibwa babuyinza nga aba URA oba NSSF.

Bassenkulu ne bassentebe b’ebitongole nga bakulirwa Omukungu Roland Ssebuufu basiimye nnyo Katikkiro olw’ensisinkano nga zino buli mwaka ate n’ennambika ebasobozeseza okutambuza emirimu mu bitongole bye bakolera.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Ssaabawolereza wa Buganda Christopher Bwanika ate ne baminisita ba Kabaka okuli Noah Kiyimba, Israel Kazibwe Kitooke ne Robert Serwanga Ssalongo.

LANGUAGE