Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze bonna okusoosowaza ebyetaago by’abantu be bakulembera, nga okwogera bino abadde mu nsisinkano ne Meeya wa Katabi Town Council Kalema Ronald Basamulekkere mu Bulange e Mmengo.

Oweek Mayiga annyonnyodde nti obukulembeze nsonga nkulu nnyo kubanga ensi zikula oba ne ziziŋŋama okusinziira ku bukulembeze bwazo.
“Ensi zikula oba ziziŋŋama okusinziira ku bukulembeze bwe ziba nabwo era ensi nnyingi ze muwulidde ezikulaakulanye naffe ne twewunya, kiva ku bukulembeze obuberawo naye ne bwebiba ebitundu nga ‘Town Councils’ nakyo kiva nnyo ku bukulembeze obubeerawo kyokka obukulembeze obulungi bwonna buva mu kusoosowaza byetaago by’abantu tugambe ebyenjigiriza, byabulamu, ensonga z’abavubuka nga okubafunira emirimu n’ebirala’ Katikkiro bwanyonyodde.
Owek. Mayiga alaze nti buli kitundu kiba ne byakyo nga ne Buganda bw’erina Ssaabasajja, obuwangwa n’ennono abantu bye bakiririzaamu kale omukulembeze omulungi ateekwa okubitegeera. Katikkiro ategezeza nti Meeya Kalema ebbanga lyonna yetabye mu nsonga z’Obwakabaka era amwebazizza.

Owoomumbuga yebazizza Kalema olw’okwagala ebyenjigiriza n’atabdikawo n’essomero li St. Lawrence High School Naligala, ono asibiridde abayizi abakiikiridde bannaabwe entanda y’obutalimbibwa bannakigwanyizi kw’abo ab’olubatu abatasoma nga bagagga okwefumitiriza bameka abaatasoma nga bali bulungi.
Katikkiro asiimye nnyo Mmeeya ne banne bwe baguze zi Satifiketi okusobola okuwagira emirimu gy’Embuga n’abategeeza nti Buganda eteekwa okwerwanako nga ekola emirimu egirabwako nga olugero lw’abajjuliza lwe lwa ‘Enjovu teremererwa masanga gaayo.
Minisita wa Kabineeti Noah Kiyimba alaze nti yenyumiriza nnyo mu Meeya Kalema Basamulekkere olw’obutabaswaza bbo nga Bannakobazambogo n’atwala mu maaso obukulembeze obwamuyigirizibwa mu mulembe gwabwe ogwabawebwa Ssaabasajja. Ono alaze nti Meeya Kalema abakulembedde bulungi.
Ye mmeeya wa Katabi Town Council Kalema Ronald Basamulekkere alaze nti ebizimbe bya Ssaabasajja mu Katabi babivuddemu era ali ku ddimu ly’okubiddaabiriza babikwase Mmengo mu butongole ate basasule ne busuulu abanjibwa nga kati balinze kusumululwa disitulikiti ye Wakiso.
Ku ludda lw’ebyobufuzi Mmeeya Kalema ategeezeza Katikkiro nti wadde ekibiina kya National Unity Platform tekyamuwadde kaadi wa kujja bwanamunigina nga akabonero ke saawa.