Ebibuzo eby’akamalirizo eby’omwaka 2026 bibindabiinda, abayizi bawongeddwa mu mikono gy’omutonzi

Amawulire Oct 01, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja

Mmengo – Kyaddondo

Abayizi ba S4 ne S6 ku Lubiri High School Mmengo, bawongeddwa eri omutonzi abakwatireko bayite ebigezo by’akamalirizo eby’omwaka guno.

Supreme Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Mohammed Galabuzi, y’akulembeddemu dduwa n’akubiriza abayizi okukuuma empisa mu biseera by’e bigezo beewale ebikolwa ebityoboola amateeka agafuga ebigezo, era n’asaba abazadde okukuuma obulungi abaana bano engeri gyebavudde mu mikono gy’abasomesa era babatendeke okukola emirimo.

Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’enjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza abakulira Lubiri High School Mmengo olw’okuteeka mu nkola enteekateeka y’obwakabaka ey’okusitula omutindo kubanga eby’enjigiriza ku ssomero lino biri ku mutindo gwa waggulu.

Omukulu w’essomero lino, Omukungu Immaculate Nampijja, yebazizza abazadde okubateekamu obwesige ne babawa abaana baabwe bafune okubangulwa okuli ku mutindo era n’asaba abayizi abagenda okugezesebwa bafune obuvumu n’okwekkiririzaamu basobole okuyita.

Ebigezo bya S4 ne S6 bitandika nga 8 Mukulukusabitungotungo

LANGUAGE