Bazzukulu ba Gabunga ab’essiga lya luvule bawagidde emirimo gy’ekika

Amawulire Oct 01, 2026
Share This

Bya Ssava Kevin’s Kanyike

Sserinnya – Ssese

Bazzukulu ba Gabunga ab’ssiga lya Luvule bawagidde emirimu gy’ekikaBya Saava Kevins KanyikeSseringa-Ssese

Ekika kye Mmamba Gabunga kyongedde okusitula omutindo okuyita mu ssiga lya Luvule bweliwaddeyo ensimbi okuwagira emirimu gy’ekika ku mukolo ogutegekedwa e Sserinya mu Ssese era kumukolo gwegumu Omutaka Gabunga atongoza obukulembeze obugya mu ssiga lino erya Luvule.

Omutaka Gabunga James Mubiru Zziikwa IV akowodde abazadde mu kika kye Mmamba okufuba okuyigiriza abaana ebikwaata ku kika kyabwe nga batambula nabo ku mikolo gy’ekika nga guno kibasobozese okuyiga ebisokerwako mu kika era ono abakutidde okutambula nabo buli awali emikolo kika kino.

Omutaka Gabunga yenyamidde olw’abantu mu Buganda abasulidde okumanya ku buwangwa bwabwe ate n’ebatajjumbira na kwetaba mu nteekateeka z’abika byabwe kyanyonyodde nti kibalemaza.

Omutaka Gabunga akowoodde bazzukulu be okwetaba mu musomo ogutegekedwa bajjajja Abataka Ab’Obusolya nga 30/10/2026 mu Lubiri e Mmengo basobole okufuna eby’okuyiga naddala ku maka era bazze ekika kye Mmamba ku ntikko.

Omukulu w’ekika kye Ngabi Omutaka Nsamba Ssaalongo Alosioyous Lubega Magandaazi asabye obukulembeze bw’amasiga okuba omumuli mukutwala okuwabula kwa Kammalabyonna Charles Peter Mayiga okuba ne federo ey’ebikolwa nga bafuba obutayonona buwangwa kale bano abasabye okusosowaza entuuma y’amannya mu baana abawala nga bewala okubatuuma ago ag’abasajja.

Katikkiro w’ekika Mmamba munnamateeka Denis Bagaya akubiriza abazadde okuzaala abaana abawera kyokka babawerere basome basobole okugasa ekika kyabwe mubuwereza obukikulakulanya.

Munnamateeka Bagaya yebaziza omukulu e’essiga lya Luvule olw’okuteekateeka obukulembeze mubo ekibasobozeseza n’okuwagira emmirimu gy’ekika.Omukulu w’essiga lya Wampona era omuwanika e’ekika kye Mmamba Nsubuga David akubiriza bazzukulu banne mu kika okutwala emirimu gy’ekika nga mikulu wamu n’okuwereza mubiffo eby’enjawulo ekibawa omuganya okufuna obukugu obubasobozesa okuwereza mu kika nga banjawulo.

Akulira essiga lya Luvule mu kika kye Mmamba Gabunga David Batume Ssekindi owa 36 yebazizza omutaka Gabunga olw’okubafizizaawo akadde nga bazukulu bbe nabalambulako ate namanya n’ebibafaako.

LANGUAGE