Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bukubirizza abayizi b’amasomero okusimba emiti nga bajaguza obuwanguzi bwebatuuseeko mu bulamu bwabwe, nga bateekesa mu nkola ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka okusobola okwewala ekyeya ekyeyongedde ensangi zino.

Bino byogeddwa Minisita wa Kabineeti, Abagenyi, Olukiiko n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba bwabadde atikkula oluwalo lwa nsimbi Obukadde 6,050,000 oluvudde mu baana b’amasomero okuva mu masaza; Ssingo ne Kyaddondo.
Minisita Kiyimba agamba nti Ssaabasajja Kabaka kyayagaliza abayizi kwe kubeera abayigirize y’ensonga lwaki yatandikawo enteekateeka ya Kabaka Education Fund, bw’atyo asabye abazadde obutatuuza baana waka abo abali mu myaka egisoma.

Oweek. Kiyimba yebazizza abazadde abafuba okuweerera abaana baabwe n’okubasigamu ensigo ey’obuntubulamu nga Maama Nnaabagereka bwazze abakubiriza olwo baveemu nga abantu ab’omuwendo mu ggwanga.
Omwami w’eggombolola y’e Bukomero nga y’akulembeddemu amasomero agavudde mu bitundu by’eyo Mw. Kikomeko Musa, yeebazizza obwakabaka olw’enteekateeka eno ekumaakuma abayizi nebakimanya nti balina obuvunaanyizibwa okuzimba eggwanga lyabwe Buganda. Gano ge masomero agakiise Embuga olwa leero.

Mityana SSS Namukozi (Ssingo)Winterland Primary School Kyebando (Kyaddondo). Sir Apollo Kaggwa P/S Mengo (Kyaddondo).Bukomero SSS (Ssingo)Brightstars SSS Bukomero (Ssingo)Bukomero Progressive Nursery & P/S (Ssingo)Rosie Kindergarten, Nursery & P/S Kateera Trust P/S (Ssingo)Platinum H/S Lwamata (Ssingo).
