Ekivvulu kya Irene Namatovu ‘Strong Woman’s akiroopye Embuga

Amawulire Aug 05, 2026
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Omuyimbi Irene Namatovu ne bba Geoffrey Lutaaya n’abayimbi abalala, bakyaddeko e Bulange, ne basisinkana Katikkiro ne bamubuulira ku nteekateeka z’ekivvulu kye bategese kye batuumye “Strong Woman” ku Serena Hotel omwezi guno nga 21.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga musanyufu n’enneeyisa ya Irene Namatovu nga omuntu akuuma ekitiibwa kye ng’omukyala omufumbo era omuzadde, tomuwulira mu bintu bitalina makulu era kyakulabirako kirungi eri abayimbi abalala. Ennyimba ze nnungi ate ne siteegi agikozesa bulungi, bw’atyo akoowodde bannayuganda bagende bamuwagire.

Katikkiro asabye Namatovu ayongere obuyiiya asobole okufuna mu kitone kye. Agamba Ssente eziweebwa abayimbi tezibayamba kwe kulaakulanya kyokka, wabula basaana okukimanya nti omuntu akwagaliza y’akuwa eddobo n’ovuba so si kukuwa ky’ennyanja kulya.

Ku nsonga ya Copyright eyogerwako ennyo, Kamalabyonna agamba eringa kufulu bwotagisiba terina makulu era omuyimbi atayiiya nnyimba, ateegezaamu, copyright, ne bw’ejja tegenda ku mugaggawaza n’olwekyo abayimbi balina kubeera abanyiikivu mu buyiiya bw’ennyimba batuuke ku buwanguzi.

Irene Namatovu awadde ensonga lwaki ekivvulu yakituuma Strong Woman kubanga abakyala bayita mu bingi, bakozi, abakyala babeererawo abaami baabwe, banakazadde b’eggwanga, era nga yeteeka mu bigere by’omukyala oyo ayogerwako.

Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ayogedde ku lwa Ssaalongo Sserwanga Robert, Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, agamba Namatovu muyimbi alina bingi byayigiriza ensi okuyita mu nnyimba era abayimbi abalala bangi bamutwala nga eky’okulabirako.

.Irene Namatovu e Bulange awerekeddwako abayimbi abalala, okuli; Lady Titie, Sophie Nantongo, Betina Namukasa, Chosen Becky, ne Grace Khan

LANGUAGE