Nnaabagereka Nagginda akuubye ab’ekkanisa ya Uganda ku Buntubulamu

Amawulire Aug 05, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

mmengo – Kyaddondo

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye ab’ekkanisa ya Uganda okubeera abasaale mu kaweefube w’okunnyikiza obuntubulamu mu bantu nga bakozesa akatuuti okubuulira enjiri ya Kristo ekyusa embeera z’Abantu.

Nnaabagereka okwogera bino asinzidde mu lukungaana lw’Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda olw’omulundi ogwa 28 olutudde ku ssettendekero ya Uganda Christian University (UCU) e Mukono.

Nnaabagereka agamba, abakulu b’eddiini basobolera ddala okuleetawo enjawulo mu nneeyisa y’Abantu, mu kubabuulira ensonga ezibatwala mu maaso, okwagalana, obumu, okunyweza obuwangwa n’ennono, zino bweziteekebwa mu nkola abantu ab’ebikolwa ebikyamu okugeza ettemu, okulya enguzi, tebabeerawo.

Nnaabagereka era alambise bannaddiini bano obukulu bw’okukuuma obutondebwensi n’asaba bakubirize abantu okusimba emiti, bakungaanye amazzi g’enkuba, era bettanire amasannyalaze agava mu nakavundira.

Ye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, His Grace Dr. Stephen Kaziimba Mugalu, yebazizza Nnaabagereka olw’omulimu gw’akola mu kukyusa enneeyisa n’okutumbula empisa mu bavubuka nga ayita mu Kisaakaate kya Nnaabagereka n’agamba nti enteekateeka eno eggumiza emisingi gy’obuvunaanyizibwa n’empisa ennungi mu ggwanga.

Olukungaana luno lutambulira ku mulamwa: “Nga Tunywezeddwa mu Kristo olw’Obumu, Okunywera n’Emirembe” okuva mu Abeefeeso 2:14–17.

LANGUAGE