Bya Miiro Shafik
Mmengo – Bulange
Emizannyo gy’Ebika giddamu essaawa yonna: Minisita w’Ebyemizannyo asabye abakulembeze okunonya abazannyi abalina omutima gw’ebika byabwe.
Olukiiko oluteekateeka emizannyo gy’ebika mu Buganda lutudde mu Bulange e Mmengo mu lukiiko n’abakulembeze ba ttiimu z’Ebika okuttanya ku nsonga ez’enjawulo okusobola okutegeka emizannyo emirungi omwaka guno.

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga asinzidde mu lutuula luno n’akubirizza abakulembeze ba ttiimu z’Ebika okufaayo okunonya abazannyi abalina omutima gw’ebika byabwe sso ssi kuleeta buli muntu gwe balabye omuva abattattana ekifaananyi ky’emizannyo gino.
“Twagala nnyo okuwangula naye tukozese nnyo abazannyi abaagala ebika byabwe, tuwe emizannyo gino egy’ebika okwewaayo n’okulowooza okumala tusobole okuwa empaka zino ebbugumu lyonna,era tuteeketeeke abazzukulu kuba wajja kubaayo okukumba nga tuggulawo emizannyo gy’ebika.” Owek. Serwanga.
Minisita Serwanga asabye abakulembeze ba ttiimu z’Ebika okukola okweteekateeka okumala basobole okuteekawo okuvuganya okulungi era bawe abalabi emizannyo eginyuma eea bafeeyo n’okulaba ekigendererwa ky’empaka zino kivaayo bulungi.

Ku lwa Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka emizannyo gino, Owek. Hajj Sulaiman Magala, Omuwandiisi w’Olukiiko Gerald Katamba y’akubirizza olukiiko luno era ono akubirizza buli mukulembeze mu Kika, n’abazzukulu bonna bawagira Ebika mu ngeri zonna okulaba nti emizannyo gy’ebika omwaka guno gibeera gya mutindo nga enkola empya bwe yayanjuddwa ate era essira liteekebwe mu kutumbula ebitone by’abazannyi, okunyweza obumu, okulwanyisa mukenenya n’okunyweza ekitiibwa kya Nnamulondo.
Emizannyo gy’omwaka guno zijja kuggulawo nga 2/05/2025 okulaba ani anabeera nnantameggwa w’omwaka guno. Emizannyo egigenda okuzannyibwa omwaka guno kuliko omupiira ogw’ebigere, okubaka, ekigwo, omweso n’emirala.
Ebisaawe okuli eky’e Wankulukuku, Wakissha, Lubiri SS, Kibuli SS, Kawanda SS by’ebimu ku bikakasiddwa okukozesebwa mu mpaka z’omwaka guno.
