Mukenenya tumulwanyise awatali kuddirizza – Katikkiro Mayiga

Amawulire Apr 20, 2026
Share This

Katikkiro Charles Peter Mayiga ajjukizza Obuganda nti okulwanyisa mukenenya bateekwa obutassa mukono era akikaatirizza nti okuwangula ekintu kyonna omuntu alina okuddiŋŋana by’akola.

Katikkiro okwogera bino abadde asimbula emisinde gy’aba Kampala Hash House Harriers gye baasalawo okudduka oluvannyuma lw’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka wabula nga nabo bagatta eddoboozi ku kaweefube w’okulwanyisa mukenenya ate nga bwe bajaguza n’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

“Mwebale kukafuula kalombolombo okudduka emisinde buli mwaka nga twakamala emisinde gy’amazaalibwa ga, bw’oba oyagala okukola ekintu kizaale ebibala, olina okukiddiŋŋana neera neera neera, n’olwekyo mmwe okubeera ku mulamwa gwennyini Kabaka gw’ayagala tubeereko ogw’okugoba siriimu, ffe abasajja n’addala wewaawo waliwo n’abakazi abeekaza ensangi zino ne beetandikira abasajja, naye ekikulu tufeeyo okwekuuma obulwadde” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro agamba waliwo abamubuuza lwaki buli kadde abajjukiza obulwadde bwa mukenenya, bano abakubye akakule ng’agamba nti omuntu bw’alya buli lunaku, n’okulwanyisa emize egivaamu mukenenya, obubaka bulina kuddiŋŋanibwa abantu basobole okujjukiranga okwekuuma.

Ye Omulangira David Kintu Wasajja ng’ono mmemba mu kibiina kino, ategeezeza nti ekibiina kino kikuŋŋanya abantu bangi abaawukana mu kikula kale nga bwe bakuŋŋaana awamu ate ku nsonga enkulu ey’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka, okulwanyisa mukenenya, n’okukuuma obulamu, agamba kabonero kalungi ddala. Ku lwa bammemba bonna ayongedde okuyozaayoza Nnyinimu okutuuka mu mazaalibwa ge ag’emyaka 71.

Ssentebe w’ekibiina kino mu mwaka guno, Alice Okecho alaze essanyu okuba nti baanirizibwa Embuga nga ba Hashers nabo okukuza amazaalibwa ga Kabaka, ono alabudde nti obulwadde bwa mukenenya bulina engeri gye bukomawo mpola mpola, kale nga kikulu okuteekawo enkola ez’enjawulo ezijjukiza abantu nti obulwadde buno bukyaliwo era butta, yeyanzizza Kabaka olw’enteekateeka y’emisinde ejjukiza abantu okubaawo kw’obulwadde bwa mukenenya n’akabaate aka bulimu.

Bano badduse emisinde okuyita mu Mmengo ne Lubaga, n’okusala kkeeki ng’akabonero ak’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka.

LANGUAGE