Katikkiro Awabudde ku Muzze gw’Okwetta

Amawulire Nov 18, 2025
Share This

Bya Miiro Shafik

Kampala – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga awabudde ku biyinza okukolebwa okulamawo omuzze gw’okwetta ogususse mu basajja gw’agamba nti guva mu kusirikira ebizibu ekiviiraako abantu n’okufuna endwadde z’omutwe.

Owek. Mayiga, alaze obweraliikirivu olw’omuwendo gw’abasajja ebetta okweyongera nga kino bangi bakiteeka ku kuba nti abasajja mu kukuzibwa kwabwe bakubirizibwa okuba abavumu, n’obukugumira embeera, nga kino Katikkiro agamba kimaliriza kibaliira munda.

Katikkiro Mayiga bino abyogedde bw’abadde yetabye mu kujjukira n’okwefumiitiriza ku lunaku lw’Abasajja olw’Ensi yonna enteekateeka etegekeddwa bbanka ya Uganda enkulu ku kitebe kyayo mu Kampala era nga etambulidde wansi w’omulamwa; ‘Okumalawo okwetta mu basajja’

“Emirundi mingi ffe abasajja batukuza kubeera ba maanyi era bazira, kyokka tubeera n’ebizibu bye tusanga ku mirimu, mu maka, kyokka ne tubisikira kubanga bwetutyo bwe twakuzibwa; omusajja takaaba, omusajja taba na ntondo, talwana na bakazi olwo ne tukula nga tulowooza buli kizibu tusobola okukyenganga, tumaliriza oluusi tulemereddwa, ekivaamu bulwadde bwa mitwe” Katikkiro Mayiga.

Owoomumbuga agamba nti abasajja bangi ebizibu bwe bibayinga nga badda mu kunywa omwenge, enjaga, abalala ne beggya mu bulamu bwensi. Bwatyo abakubirizza okwemanyiza okubaako gwe babuulira ku bibeera bibasoomooza baleme kusirika busirisi.Kamalabyonnaawadde

Kamalabyonna Mayiga awadde ensonga musanvu ezisobola okwesigamwako okumalawo embeera y’abasajja okusirikira ebibasoomooza; Okubunyisa emisomo ku ndwadde z’emitwe, okutuusa empereza n’obuyambi eri abo abafunye endwadde zino, okuteekawo enkola ez’okwewummuzzaamu ku mirimu, okulwanyisa ebiragalalagala, okuteekawo ensiisira eziyita mu Bannaddiini n’abakulembeze ab’ennono okusomesa abantu, abasajja okubaako n’ebibiina bye beegattiramu okwogera ku nsonga nga zino, okuteekawo abakulembeze abajjukiza abantu ku ndwadde z’emitwe. Ono agamba Obwakabaka bino bwa bitandikako dda era enteekateeka zigenda mu maaso.

Yebazizza abakulira bbanka enkulu eya Uganda olw’enteekateeka gye bakoze okwogera ku kizibu kino ng’akikaatiriza nti singa wabaawo embeera ey’olutentezi emanyisa n’okujjukiza abasajja ku kabi akali mu kusirikira ebizibu, kijja kwongera okumalawo embeera y’abantu abetta olw’ebibasoomooza okuyitirira.

Ye Gavana wa bbanka ya Uganda enkulu, Gov. Michael Atingi-Ego ategeezezza nti abaami bakola etundutundu ddene ku byenfuna by’eggwanga era nti kibeera kikulu nnyo okufaayo ku mbeera zaabwe, n’okubakubiriza okwogera nga bafunye ebibanyigiriza kibataase obuteggya mu bulamu bwansi olw’ebibasoomooza.

Ono yebazizza Katikkiro Mayiga olw’okubakyalirako era amukulembeddemu n’okulambula ku kkaddiyizo lya bbanka eno ewaterekebwa ebintu eby’enkizo ebya bbanka eno n’ebimu ku byafaayo byayo.Mu nsi yonna abantu abali eyo mu mitwalo nsanvu (700,000) be betta buli mwaka kyokka ku bano abasinga baami nga bakubisaamu abakyala emirundi 3.

Mu Uganda ebibalo biraga nti abantu ebitundu 24.2% balina obukosefu ku bwongo. Nga wano munda mu ggwanga ku buli bantu emitwalo 10 abantu ebitundu 6.6% be beetuga.

LANGUAGE