Katikkiro Mayiga Agenze Mbale

Amawulire Oct 11, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mbale

Kamalabyonna wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga ayaniriziddwa mu ssanyu n’obugombe ng’atuuka mu Kibuga Mbale gy’agenze okusisinkana abantu ba Kabaka ababeera eno naddala abavubuka ba Buganda.

Minisitule y’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone yatandikawo enkola ey’okulambula abavubuka naddala abavubuka abali ebweru wa Buganda ng’eno yatandikira Kabaale, n’edda e Guli, Jinja kati omwaka guno eri Mbale (Bugisu, Teso ne Bukedi).

Katikkiro olutuuse mu Kibuga Mbale, ayogeddeko eri enkuyanja y’abantu ababadde bamulindiridde.

“Mbadde maze emyaka 11 okuva lwetwava mu nteekateeka y’Ettofaali mu bitundu by’e Mbale eno. Kirungi okulaba abantu ba Ssaabasajja Kabaka nga bakyaali basanyufu nga bwenabaleka era neesunga okubasisinkana enkya” Katikkiro.

Omwami wa Kabaka amulamulirako abantu be e Bugisu, Teso ne Bukedi Oweek. Rashid Nsubuga ategezezza nti okukyala kwa Mukuumaddammula mu ssaza lino kabonero akalaga okwagala Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kw’alina eri abantu be.

Oweek. Nsubuga n’abaami ba Kabaka abalala bakubirizza abantu ba Kabaka mu ssaza lino okwetaba mu nsisinkano ya Katikkiro olunaku olw’enkya bamanye ebifa embuga.

Kamalabyonna awerekeddwako Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek Ssaalongo Sserwanga Robert, Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Oweek Lukwago Rashid, Oweek Mukasa Ivan, Owek. Hassan Kiyemba n’abakulembeze b’abavubuka mu Bwakabaka.#AbavubukaMuBuganda

LANGUAGE