Katikkiro Mayiga Ayogedde ku Kusaanawo kw’amaka okuva ku ssente

Amawulire Sep 02, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okunyweza amaka gaabwe nga beetegereza ennyingiza n’esaasanya y’ensimbi.

Obubaka buno Katikkiro abutisse Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke bw’abadde atikkula oluwalo olusobye mu bukadde 45 okuva mu masaza; Busiro, Buweekula ne Ssingo ku Mbuga ya Bulange.

Mu bubaka buno. Kamalabyonna agamba nti ensimbi zongedde okwawukanya abantu mu maka era abakubiriza okwefumiitiriza ennyo ku nnyingiza y’ensimbi mu maka gaabwe kibayambe n’okumanya engeri gye bazisaasanyamu beewale okwejalabya. Asabye abantu okwerekereza ku bintu bye basobola okubeerawo nga tebabirina.

Katikkiro alaze obwenyamivu eri abavubuka aboonoonera ssente ennyingi mu mikolo gyabwe egy’embaga n’egamatikkira g’okumaliriza emisomo n’abakomako obutayonoonera nsimbi mu mikolo kubanga kibazza nnyo emabega, ne bagenda okumaliriza nga tebalina mirimu ng’ensimbi ezaandibayambye okutandikawo emirimu bazimalidde mu mikolo.

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki ku mukolo gwe gumu, asabye abaami ba Kabaka okukola ennyo okuggyayo ekitiibwa kya Ssaabasajja nga kino kirina kulabikira mu mirimu gye bakola naddala nga banyikiza obubaka obuva e Mbuga era wano wabasabidde okuddayo befumitirize ku bye balina okukola, obuvunaanyizibwa bwabwe okutuukirira obulungi.

Omumyuka wa Ssebwana Owookubiri Mw. Kayongo Vincent asabye abaami ba Kabaka okusigala nga balambula abantu ba Kabaka newankubadde nga bamaze okuleeta oluwalo era bwatyo abasabye okukola n’okwagala.

Oluwalo lwetabiddwako Luweekula Owek. Ssempijja Andrew, Omumyuka wa Mukwenda ow’okusatu Mw. Jjumba Luweekula Oweek. Ssempijja Andrew Steven Mukasa bano bakulembeddemu eggombolola okuva mu Busiro; Mut I Masuulita, Mut II Kakiri, ne Mut III Namayumba, Buweekula; Mut I Kitenga, Ssingo; Ssaabaddu Kassanda.

LANGUAGE