
Bya Pauline Mayonjo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu nkola ya Luwalo Lwaffe bufuna ssente okuva mu bantu ba Buganda n’emikwano gya Buganda. Kyokka oli asobola okwebuuza nti lwaki abantu bajjumbidde nnyo okuwaayo ensimbi eri Obwakabaka?
Nazzikuno mu Buganda, ng’omuntu oba ekibinja ky’abantu baweebwa obuvunaanyizibwa okugeza okulima enguudo, okuzimba embiri, ebisaakaate oba omulimu omulala gwonna. Okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo olwo nga kinnyonnyolwa nti oli atuukirizza oluwalo lwe. Obuvunaanyizibwa obw’engeri eno bwayinzanga okuweebwa omuntu kinnoomu, Abaami, Ekika, Essaza oba ekibinja ekirala kyonna eky’abantu.
Ku mulembe guno Omutebi enkola y’Oluwalo yazuukusibwa mu ngeri ewa abantu ba Buganda n’abantu abalala bonna okuwagira emirimu gy’Obwakabaka nga bawaayo ssente buli omu mu busobozi bwe. Enkola eno okusingira ddala eyisibwa mu masaza n’eggombolola ng’Abaami abali mu bifo bavunayizibwa okukunga n’okuluŋŋamya abantu ba Kabaka ku nteekateeka z’Oluwalo; babategeeza ddi lwe banaakiika Embuga, bagaba satifikeeti eri abo abawaayo ensimbi n’okubakulemberamu okukiika Embuga.
Katikkiro Charles Peter Mayiga azze akiddiŋŋana nti Buganda wadde ebanja federo, abantu baayo tebalina kwekubagiza wabula okwekolera ku nsonga zaabwe, olwo Buganda esobole okudda ku ntikko. Bw’otunuulira ensimbi eziweebwawo abantu n’ebyo Buganda by’ekola tolema kukkiriza nti wamma ggwe abantu ba Buganda basobola okukola ku nsonga zaabwe bwe bamalirira.

Okusiigira ekifaananyi omwaka, embalirira ya Buganda ey’omwaka gw’ensimbi 2024/2025, ensimbi eziwerera ddala akawumbi kamu n’obukadde lukaaga (1,686,199,406/-) ze zakuŋanyizibwa mu luwalo nga zino zeyongera ebitundu 8.27% kw’ezo ezaawebwayo mu 2023.Ku nsimbi ezo essaza Kyaddondo lye lyamegga amalala gonna n’ensimbi obukadde bina mu munaana (408,054,300/-) lyaddirirwa Buddu n’ensimbi obukadde bibiri mu butaano (205,573,000/-).
Ng’oggyeko amasaza ga Buganda 18, n’abantu mu masaza ga Kabaka agali ebweru wa Buganda omuli n’abali emitala w’amayanja bajjumbira enteekateeka eno era nabo kati bakiika mu luwalo era mu 2024/2025 bakiika n’oluwalo lwa bukadde kinaana mu kamu (81,135,406/-).
Ensimbi zino eziva mu luwalo n’endala eviva mu Bannamikago, n’emikwano gya Buganda zisobodde okuwagira; okuzimba amalwaliro mu Buganda, okuunyizikiza kawefube wa Emmwanyi Terimba, okuddaabiriza amasiro, okuwagira ensawo ya Kabaka ey’Ebyenjigiriza n’emirimu gy’Obwakabaka emirala.
Tuwayizaamu n’abamu ku bantu abakiika Embuga okumanya we bajja amaanyi n’obwesigwa okuwaayo ensimbi mu bungi bwe buti;

Kyambadde Samuel munnamateeka okuva ku kyalo Kasaga mu ggombolola ya Namayumba kisonyi mu Busiro mu bigambo bye anyonyodde bwati ‘buvunanyizibwa bwaffe okuwagira Obwakabaka bwaffe era munkola eno eya luwalo kitukakatako okuwayo n’ekigendererwa eky’okuwagira emirimu egikolebwa Obwakabaka munteekateeka ey’okuzimba Buganda eyawamu kuba buli bwetuwaayo tuba tuwagira mirimu egikolebwa Buganda ate etalina wekuŋŋanya musolo. Buganda yeffe era kitukakatako okuwagira buli ky’ekola tusobole okugizza ku Ntikko. kale abavubuka, abaana n’abakadde tukimanye nti Buganda eyimirizibwawo ffe’ Kyambadde bwanyonyodde.
Nakibuuka Annet ava mu ggombolola ya Ssaabaddu Kassanda mu Ssingo alaze nti ekimuwesaayo oluwalo kwe kuba nti mukyala muganda ateekwa okugyayo ekitiibwa kya Buganda ate nti emyaka gy’amaze mu Ssingo agabanye ku bibala bya Buganda naddala eby’enkulakulana. Ono ayongeddeko nti okukiika e Mmengo asiga nsigo mu baana be nabo bwe balikula bagoberere ekkubo ly’erimu baweereze Kabaka waabwe.
Nyamuhaki Brian muyizi, asoma siniya ey’okubiri ku Mt Zion Secondary School mu Ssaza Buweekula ono agamba nti okujjumbira oluwalo akikola lwakuba baweebwa omwaganja okwolesa ebitone byabwe ekibasobozesa okubikuza.
Endowooza z’abalala nnyingi ezifaananako nga zino n’endala kyokka abakulembeze bangi mu Buganda okuli ne Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga bagamba nti kye batasobola kwerabira mu byonna bye bakola mu nsimbi z’abantu kwe kuwa entebya okulaga obwerufu mu nkola ey’oluwalo eno n’emirimu gy’Obwakabaka emirala.
Buli mwaka Omuwanika wa Buganda ayanjula entebya eraga engeri ssente eziba zivudde mu luwalo zikozeseddwa zitya era zaafunibwa zitya. Kino kyongera okuwa abantu amaanyi okuwaayo, mpozzi gwe tomanyi njogera egamba nti “teeka ssente wolaba”. Buganda ng’ezimba amalwaliro, amasomero, n’enkulaakulana endala buli omu aba mukakafu nti ssente gy’awaawo ekwatibwa bulungi.
Enkola ya Luwalo Lwaffe eno eyatukizibwa mu 2017 ku mulembe guno Omutebi, ezze eyongerwamu ebirungo era Amasaza n’Eggombolola bavuganya era buli mwaka abawanguzi ne balangirirwa. Abakize ku balala baweebwa n’ebirabo. Waliwo ne Kkampuni, ebitongole okuli n’ebya Gavumenti eya wakati nabyo ebikiika Embuga ne biwagira emirimu gy’Obwakabaka. Abaana abato, abantu abakulu, abakadde, abasajja n’abakazi, bannaddiini, bannabyabufuzi n’abalala bonna awatali kusosola, bawaayo ssente eri Obwakabaka okuwagira enteekateka zaabwo.
