Kyabazinga wa Busoga Azadde Abalongo: Buganda Ebaanirizza mu Ssanyu

Amawulire Sep 01, 2025
Share This

Bya Pauline Nannyonjo

Amawulire g’okuzaalibwa kw’Abalangira ba Busoga Abalongo ba Kyabazinga William Gabula Nadiope ne lnebantu Jovia Mutesi gasaasaanidde Eggwanga enkya ya leero oluvanyuma lw’emyaka ebiri bukya bagattibwa mu kkanisa e Bugembe mu 2023.

Amawulire g’okuzaalibwa kw’abalangira; William Ethan Nadiope ne Arnold Eli Nadiope gafulumidde ku mutimbagano gwa X ku kibanja kya Kyabazinga wa Busoga ‘@KingNadiopeIV’ nga galaga nti ababiri bano baazaalibwa nga 27 Muwakanya 2025. Mu bubaka buno beebazizza Katonda abawadde ekkula ly’ezadde mu Maka gaabwe era ne beebaza essaala okuva mu mikwano n’abooluganda ababawagidde mu mbeera zonna.

Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga akulisizza Kyabazinga ne Inebantu olw’ezadde lye bafunye mu bufumbo bwabwe era mu bubaka bwe bwati bw’ategezeza;

“Ku lwange, ku lwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n’Abantu ba Buganda bonna njozaayoza Isebantu ne Inebantu era twaniriza Abalangira ababiri. Tubaagaliza obulamu obulungi ne bazadde baabwe.Tuyozaayoza abantu ba Busoga ne Bannayuganda bonna, twebaza Katonda era tumusaba abaana abateekeko amaaso Ge”.

Gano mawulire ga ssanyu nnyo agagoberedde embaga ey’ebyafaayo eya Isebantu Gabula Nadiope ne Inebantu kuba obufumbo mpangi nkulu nnyo mu bulamu bwaffe ate tugamba nti amaka mpagi nkulu mu kuzimba eggwanga kakati Kyabazinga wa Busoga bw’abeera omufumbo ate obufumbo ne buvaamu ezadde tusanyuka era tusuubira ebirungi bingi kuba omusaayi guba gweyongedde okutambula nga gugenda mu maaso’ Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga era agamba nti ezzadde lya Isebantu ne Inebantu lye bafunye kya ssanyu nnyo eri abantu ba Busoga, Buganda ne Uganda yonna ng’akikaatiriza nti kubanga Buganda eringa ennyonyi muzinge olw’amawanga ag’enjawulo agalimu, essanyu eribeera mu kitundu ekimu libuna wonna. Bwatyo ayanirizza Abalongo era n’asaba Katonda abawe obulamu obulungi wamu ne bazadde baabwe

LANGUAGE