
Bya Miiro Shafik
Empaka z’omupiira gw’Amasaza ga Buganda omuntu asobola okugamba nti zituuse wezinyumira anti omutendera gw’ebibinja guli mu kukomekkerezebwa era amasaza ag’enjawulo gatandise okuvaako ate amalala ne geyongerayo ku mutendera oguddako.
Essaza Buddu abaawangula ekikopo omwaka oguwedde lye limu ku Masaza agawanduse era agatasobodde kuva mu kibinja omwaka guno. Bano newankubadde baggulawo na buwanguzi nga bakuba Gomba ggoolo 1-0 mu mupiira ogwaggulawo, ebintu oluvannyuma byaboononekera nga ku mipiira 9 egyakazanyibwa kw’egyo ekkumi (10) egizannyibwa mu kibinja, bawanguddeko 2, amaliri ga mirundi 3 ate ne bakubwa 4 mu kibinja Bulange mwe bali.
Buddu okuva mu kibinja, kyongedde okunyweza ekyafaayo ky’empaka zino eky’okuba nti okuva lwe zaatandika mu 2004, tewali Ssaza lyali lyeddiza ekikopo kino nga liwangula emirundi ebiri egy’omuddiriŋŋanwa. Buddu esigadde ku bikopo 3 bukya empaka zitandikawo emyaka 21 egiyise.

Amasaza agakyakoze enjawulo omwaka guno era agamaze okwesogga oluzannya lw’okusirisizaawo kuliko; Kyaggwe, Ssingo (ekibinja Muganzirwazza) ne Buweekula (ekibinja Masengere) ate amasaza amaalala agalindirira ebibalo by’omupiira ogusembayo kuliko; Buluuli, Busujju, Ssese, Kkooki, Mawokota, Kabula, Bugerere ne Kyaddondo. Kyokka ttiimu 8 zokka ze zigenda ku mutendera oguddako okuli 2 eziyitawo obutereevu mu buli kibinja n’endala 2 ezisinze okukola obulungi mu kifo eky’okusatu mu bibinja ebisatu.
Amasaza agakakasiddwa nti gamaze okuwanduka mu mpaka z’omwaka guno kwe kuli; Buvuma, Bulemeezi, Mawogola, Mawogola, Butambala, Gomba, Buddu ne Busiro.
Emizannyo egyabaddewo ssabbiiti eno nga buli ttiimu ezannya omupiira ogw’omwenda, mwetwalabidde n’Amasaza agaabadde teganakubwamu nga gakubwa omulundi ogusoose omwaka guno. Essaza Kyaggwe babadde bazannye emipiira 8 nga tebakubiddwamu kyokka Ssingo yabakubidde waabwe y’ennyini ku Bishops SS – Mukono ggoolo 2-0 ate Bugerere nayo yafudde ku ngo eriko omwana, Mawokota bwe yabaubye ggoolo 3-0 e Buwama.
Mu kiseera kino buli ssaza lisagazza omupiira gumu era gyonna gyakuzanyibwa ku Lwomukaaga nga 06/09/2025 ku ssaawa mwenda ez’emisana.


