
Bya Gerald Mulindwa
Nalugamba – Busujju
“Obusika buvunaanyizibwa bwa kukumaakuma ba Nganda si kutunda bya bugagga” – Owek. Mayiga
Obubaka buno Katikkiro abusibiridde Kagiri Chrizestom Bumu, omusika wa Kyeyune Kitikyamuwogo mu kwabya olumbe lw’omugenzi oyo ku kyalo Nalugamba e Busujju.
Obubaka bwa Katikkiro busomeddwa Owek. Noah Kiyimba, asabye omusika Kagiri okuba ow’embala, omukulembeze omulungi nga alaga banne eky’okulabirako ekituufu, ye ne baganda be okwewala okutunda ebintu ebyalekerwa omugenzi.
Kamalabyonna era akubirizza abantu okuddangayo mu byalo okugoberera ebyayo kubanga abasika bakozesa nnyo olukwesikwesi ne batunda ebintu.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Oweek. Joseph Kawuki, asinzidde wano n’asaba omusika okufuba okwetaba mu nsonga z’Ekika nga omugenzi bweyakolanga okusobozesa obuweereza bw’omugenzi okusigala nga butambula.
Mu bigambo bye, omusika Kagiri Chrizestom Bumu, yeyamye okukuuma omumuli gw’omugenzi gwe yaleka akoleezezza nga gwaka era n’asuubiza okukwatagana ne banne bakuume butiribiri eby’obugagga by’omugenzi byeyaleka.
Okwabya olumbe luno kwetabiddwako; Minisita Choltilda Nakate Kikomeko, Oweek. Henry Ssekabembe Kiberu, Abaami b’Amasaza n’Abamyuka, abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo n’Abantu abalala bangi.