Obulamu obulungi bukolebwa mikwano emituufu – Prof. Kaawaase

Amawulire Sep 01, 2025
Share This

Bya Samuel Stuart Jjingo

“Mukwane emikwano egiweesa ennyumba gyemuvaamu ekitiibwa”

Bino, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo abyogeredde Bbuye e Mityana mu Ssingo, ku mukolo Jalia Namugga muwala wa Hajji Abbas Kalule Bukandula kw’ayanjulidde Dr. Ismail Ssengoozi ng’omwami we mu bakaddebe.

Prof. Kaawaase yebazizza Hajj Kalule Bukandula olw’okukwana emikwano egy’ensonga egimutuusizza ku nkulaakulana esasaanidde ebitundu bya Uganda eby’enjawulo.

Mu kulambika kwe ku nsonga y’obufumbo n’obuwangwa, Oweek. Kaawaase agamba nti kikulu nnyo okukola emikolo gy’okufumbirwa nga tegikosa buwangwa naddala abantu nga bamaze emisomo gy’abwe. Avumiridde obugwenyufu obulabikira mu bantu abakola obufumbo bw’ebikukujju n’agamba nti ebikolwa bino bittattanye ekitiibwa ky’obuwangwa bw’atyo n’asaba abagole okugumiikiriza embeera yonna enajja mu bufumbo bw’abwe n’abalambika ku kw’ewa ekitiibwa okusobola okuvvunuka obuzibu obwa buli ngeri.

Omukolo gwetabiddwako; Nnaalinnya Nnabanaakulya, Omutaka Mutesasira Namuyimba Tendo, Omutaka Kasujja Shebah Kakande, ba Minisita ba Kabaka; Oweek. Ahmed Lwasa, Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Oweek. Joseph Kawuki, ababaka b’Olukiiko lwa Buganda, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Minisita okuva mu gavumenti eya wakati, ba memba ba Buganda Twezimbe, bannaddiini n’abalala.

LANGUAGE