
Bya Gerald Mulindwa
Entebbe
Omwami w’e Ggombolola Mutuba IV Lunnyo Entebbe atuuziddwa mu butongole.
Atuuziddwa ye Dr. Julius Lutwama, ng’omukolo omukulu gukoleddwa Omwami w’essaza Kyaddondo, Kaggo Oweek Ahmed Magandaazi Matovu, nga y’akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki.
Mu bubaka bwe, Oweek Kawuki asabye Omwami atuuziddwa okufuba Okujjuza Olukiiko lwe kibayambe okutambuza emirimu obulungi kwossa n’okwewala okusosola mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka wabula babasembeze kubanga Ggombolola eno erimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo.
Minisita Kawuki takomye okwo, asabye abazadde okufaayo okukuza abaana b’abwe obulungi naddala nga babakuliza mu kumanya eddiini n’Olulimi lw’abwe oluzaaliranwa kibayambe Okukula ng’Abantu abalimu Ensa.

Nga atuuzibwa, Dr. Julius Lutwama, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima amukulemberereko Ggombolola ye, n’ategeeza nti essira wakuliteeka mu kunyweza obumu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Charles Kiberu Kisiriiza, omwami atwala e Ssaza Busiro, akubirizza banna Busiro okuwagira enteekateeka z’e Ssaza zonna era n’akalaatira bannabyabufuzi okukoma Okweyawulayawulamu n’okwerumaaluma okusobola okuweesa Obwakabaka ekitiibwa.