Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Nga Twolekera akalulu ka bonna aka 2026 Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka okulonda Abakulembeze abo abanaasobola okulwanira omugabo gw’obwakabaka nga batuuse mu bifo by’obukulembenze.

Mukuumaddamula bino abitadde mu bubaka bw’atisse Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Oweek Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde atikkula oluwalo mu Bantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola Musanvu mu Masaza okuli; Kyaddondo, Buddu ne Kyaggwe abakiise e Mbuga olwa leero n’ategeeza nti Buganda yetaaga abakulembeze ab’ensonga abategeera Ssaabasajja Kabaka era nga basobola okulwanirira ekitiibwa kya Buganda awatali kwekomomma.
Ensimbi obukadde 69 n’omusobyo ze ziweereddwayo Ggombolola okuli; Mutuba 1 Nangabo Kyaddondo 11,920,000, Mutuba Mukaaga Mukulu wa kibuga 2,200,000, Musaale Butenga Buddu 14,030,000, Mutuba 14 Malongo Buddu 2.530.000, Mutuba 5 Kawempe 19.296,000, Mumyuka Nakifuma Kyaggwe 12,500,000, Mutuba 20 Bukakata Buddu 6,934,000.
Ku lulwe, Oweek Robert waggwa Nsibirwa akubirizza abakulembeze okukola ebyo ebibaweesa ekitiibwa mu Bantu be bakulembera.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki yebazizza nnyo abantu ba Kabaka ebeenyigira obutereevu mu nteekateeka z’Obwakabaka okulaba nga Buganda edda ku ntikko.
Omumyuka owookubiri owa Kaggo Dr Phiona Nakalinda Kalinda, asabye abaana abato okwewala okwenyigira mu mize egiyinza okubaviirako okukwatibwa mukenenya mu kiseera ky’oluwummula lw’eboolekedde.

Abamu ku bakulembeze abeetabye mu Luwalo luno beebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okutumbula obumu mu Bantu be. Ggombolola ezikiise wonna awamu zireese omugatte gwa bukadde 69,410,000.