Bya Samuel Stuart Jjingo
Lugogo – Kyaddondo
Minisita wa Kabineeti, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba asinzidde mu kivvulu ky’ennyimba z’amasomero ekituumiddwa “The Best of Maxwell Kin Ssesanga” ekiyindidde mu kibangirizi kya bannamakolero e Lugogo.

Minisita Kiyimba atenderezza nnyo emirimu egikolebwa Mw. Ssesanga Maxwel mu kwongerayo obubaka obukwata ku buwangwa n’ennono nga ayita mu kutendeka ennyimba z’abaana b’amasomero bwatyo ku lw’Obwakabaka ne yeyama nti Buganda yakwongera okuwagira omulimu guno.
Owek. Kiyimba agamba nti omutegesi, Mw. Ssesanga atadde omuwendo munene nnyo mu kutumbuula olulimi Oluganda nga ayita mu bitone by’abaana b’amasomero mw’abayigiriza okuyimba ennyimba ezitakomye kuyimbibwa buyimbi wabula ziyambako abantu okubayisa mu dduyiro, mu kusanyuka n’ebirala.
Owek. Kiyimba yebazizza nnyo omutegesi olw’obutava ku mulamwa n’asaba abantu okwongerayo omukululo gwe okusikiriza abantu abalala okutambuza omulimu guno ogw’okuyimba obutavvoola Bwakabaka.
Kkangawo Owek. Ronald Mulondo nga ye mutandisi wa St. Peter’s Bombo Kalule, erimu ku masomero ageetabye mu kivvulu kino agamba ebitone bino biyambako nnyo abaana okwogiwaza obwongo bwabwe mu kibiina awamu n’ebweru nga bafulumye essomero nga basobola n’okubitwala ng’emirimu.

Mw. Ssesanga Maxwell yebazizza nnyo buli muntu amukwatiddeko mu nteekateeka eno n’olugendo lw’obulamu bwe bagamba nti bakoze kinene nnyo okumwongerayo mu bulamu.
Mw. Ssesanga Maxwell Kin abadde musaale nnyo mu kukulaakulanya ebitone by’abayizi abenyigira mu nnyimba z’amasomero okuva mu mwaka gwa 2006 nga akolaganye wamu n’amasomero okuli St Lawrence SS Namugongo Ssonde, Bazzukulu ba Nsimbi Makerere University, Lubiri High School, Naalya SS Namugongo, St Augustine SchoolsNakifuma, Kakoola High School, St Peters SS Bombo Kalule, St Cyprian High School Kyabakadde n’amalala.