Ssaabasajja Kabaka Asisinkanye Abataka: Alabudde ku ddembe ly’obuntu eririnyirirwa

Amawulire Jun 24, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Mengo – Kyaddondo

Ssaabasajja Kabaka Ssaabataka Ronald asisinkanye Abataka abakulu Ab’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe, abajjukiza obukulu bwabwe mu kunyweza obuwangwa bwa Buganda. Ensisinkano eno ebadde mu Lubiri e Mmengo.

Obubaka bwa Maasomoogi mu bujjuvu bwe buno;

Tusanyuse nnyo okubalabako era tubaaniriza mu Lubiri wano olwa leero. Mu ngeri ey’enjawulo twaniriza Abataka abaggya era tubaagaliza emikisa mu buweereza. Tusaasira nnyo Abataka abagonvu n’Ebika byonna ebibuliddwako Bajjajja mu kiseera kino.

Okuva edda, Abataka babadde mpagi nenne mu kunyweza ennono mu buwangwa bwa Buganda. Ebika gwe musingi gwa Buganda Abataka abakulu Ab’Obusolya ne bazzukulu baabwe gwe mutima gwa Buganda. Tujjukira omulimu ogwakolebwa Abataka mu kulwanirira n’okuzzaawo Obuganda ku mulembe guno era tubeebaza. Awonno tulina okukubiriza Abataka okwongera okuzimba n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, omwo nga mwe muli okukuuma n’okunyweza Ebika nga tumanyisa abazzukulu Ebika by’abwe n’okubannyonnyola obukulu bwabyo, okukuuma n’okunyweza ettaka n’Obutaka, okwo nga kwogasse okuyigiriza abavubuka okukola emirimu n’okukuuma ebyabwe nga ettaka kubanga Obuganda obw’omumaaso buyimiriddd ku bbo.

Okuyigiriza n’okwagazisa bazzukulu bammwe empisa, ennono, ebyafaayo n’olulimi lwaffe. Kimpa essanyu lingi nnyo okulaba nga abavubuka ba Buganda bangi bettanira era bawagira nnyo obwakabaka, tubalinamu essuubi ddene.

Nga bwe mumanyi mu kiseera kino, tufunye ebintu bingi ebisomooza Obuganda, era tusaanye okwekengera nga mwe muli; ekibba ttaka, tulina ekizibu ky’obwavu, endwadde, n’ebbula ly’emirimu mu bantu baffe abasinga obungi. Awonno okusobola okwanganga ebitusomooza, tusaanidde okutambulira awamu era bwetuba nga tulina ensonga tusaanye okuwuliziganya n’okukolera awamu, eno y’engeri yokka eneetusobozesa okukuuma obumu n’amaanyi gaffe.

Mu kiseera kino tulina ensonga enkulu ennyo zetulina okulowoozaako, ensonga ey’okukwatira amateeka mu ngalo oba obutagoberera mateeka kintu kya bulabe, tusaasira abo bonna abatyoboddwa mu ngeri eno, tusaba bonna bekikwatako okulaba nti Ensi yaffe efugibwa ku nkola essa ekitiibwa mu bantu, kissa ekitiibwa mu ddembe lyabwe ne mu mateeka, eyo y’engeri yokka gyetusobola okuba n’emirembe n’obutebenkevu mu nsi yaffe.

Nga maliriza nziramu okubeebaza mwenna okujja era mbasaba okukolera awamu n’okuwagira n’amaanyi emirimu gy’Obwakabaka, mwebale nnyo mwebalire ddala.

LANGUAGE