Ekkanisa ya Paulo Omutuukirivu ey’e London, esiimye  Omuky. Jennifer Muwonge olw’okutumbula Oluganda

Amawulire Feb 03, 2025
Share This

Bya Musasi Waffe

London – Bungereza

Kkanisa ya Paulo omutuukirivu e London, mu Bungereza, esiimye obuweereza bwa Mukyala. Jennifer Muwonge, munnayuganda akola obwa nnakyewa obw’okuweereza mu kkanisa ssaako n’okusoma ekitundu mu lulimi oluganda buli Ssande.

Mukyala. Jennifer Muwonge, yasiimiddwa olw’omulimu gwakoledde e Kkanisa ya St. Paul’s Cathedral London, naddala mu kufuba okulaba nga olulimi oluganda nalwo lufuna akanyomero ne lusomwa mu kitundu ekisomwa mu kkanisa eyo ne lwongera okusikiriza bannayuganda okwetaba mu kutendereza omutonzi nga basinziira mu lutikko eno.

E jjinja eryamuweereddwa liyitibwa “Marsh Charitable Trust Award”. 

Bw’abadde akwasibwa engule eno, Muky. Jennifer Muwonge, ategeezezza nti musanyufu nnyo olw’okusiimibwa, nti era kabonero akalaga nti buli kintu omuntu kyakola n’okwagala nga tasuubirayo mpeera kisobola okuleetawo enjawulo mu kitundu ne mu bantu abalala.

Olulimi oluganda lwatandika okusomebwa mu kkanisa eno mu mwezi gwa September omwaka oguwedde 2024, era lwe lulimi okuva ku ssemazinga wa Africa olwasookera ddala okusomebwa mu kitundu mu lutikko ya St. Paul’s Cathedral e London.

Jennifer Muwonge, muwala w’omugenzi Samuel Wamala Muwonge, nga ono y’omu ku baaliwo nga Ekibiina Ky’olulimi Oluganda kitandika, weyaviira mu bulamu bw’Ensi mu mwaka gwa 2022 ng’ali ku Lukiiko olukulembeze olw’ekibiina kino.

LANGUAGE